President wa Uganda era ssentebe wa NRM Gen Yoweri Kaguta Museveni alagidde bannakibina jya NRM okukomya okusaasaanya ensimbi mu byobufuzi nti muze mubi era ogutasaanira nakwesembereza .
Museveni agamba nti banabyabufuzi basobola okukozesa ebigambo okumatiza abantu nti bajja kubakolera nga bayita mu program ezitereddwawo Government, sso ssi kukozesa ssente buli kaseera.
Ssentebe wa NRM,bino abyogeredde ku kisaawe e Kololo bwabadde asisinkanye bannakibiina kye abasuka mu 400 abaakikwatira bendera mu bitundu bya Kampala n’emiriraano mu kulonda kwa 2021.m mubaddemu be bassentebe ba LC 5.
Museven ategezeza nti enkola yokukozesa ssente mu byobufuzi terina makulu era tesobola kuleetawo bukulembeze bwamuggundu,kuba ababa balondeddwa babeera balondeddwa lwa ssente sso ssi kuweereza bantu.
Muzeei Museveni alagidde bannakibina abettanira okulembeza ssente mu byobufuzi okukikomya mubwangu.
Museven asabye ba memba banne okwewala okusinga ebyenfuna ba family zabwe mu byobufuzi, kuba bajja kufundikira tewali kyebalina kyokka nga babadde bakulembeze era ab’amanyi.
Museveni bannakibina bamubuulidde nti bukya bava mu kulonda bafiirwa ba member ababakwatira bendera 15, era asuubizza okuwa family zabwe obukadde 10 nga amataaba okubabudaabuda.
Mungeri yemu omukulembeze wa Uganda awadde bannakibina kye amagezi okweyambisa enkola ezitereddwawo Government nga Emyooga ne Parish Development Modal okuzimanyisa abantu bebakulembera basobole okuziganyurwamu.
Omumyuka wa sabawandiisi wa NRM Rose Namayanja Nsereko yebaziza Museveni okukiriza okusisinkana banakibina era nti kibawadde esula empya kwebanaasiinziira okukwetegekera akululunka 2026.
Minister wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda asinzidde mu ensisinako eno nasubiza okukola ne bannakibina bonna okukyusa obulamu bwa bannakampala.#