Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museven awummuza abamu ku ba minister ate n’aleeta abapya.
Abapya abaleeteddwa kuliko Gen. Wilson Mbasu Mbadi abadde Ssaabaduumizi w’amagye kati afuuse minister omubeezi ow’eby’obusuubuzi, Balam Barugahara minister mubeezi ow’ekikula ky’abantu.
Hon. Lillian Aber alondeddwa nga minister mu wofiisi ya Ssaabaminister avunaanyizibwa ku bibamba n’ebigwa tebiraze, Dr.Kenneth Omona minister w’ensonga z’obukiika kkono, Nambozo Florence ye mubeezi ow’e Kalamoja.
Ba minister abasuuliddwa kuliko Mary Gorret Kitutu abadde owe Kalamoja n’abadde omubeezi we Agnes Nandutu, saako abadde ow’ebyokwerinda Vincent Bamulangaki Ssempijja kati afuuse muwi w’amagezi eri president Museven.