President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa agambye nti wakubaako byalaambika ku nsonga z’abasirikale abakuuma abakungu mu ggwanga.
Agambye nti kino wakukikola bwanaaba afunye alipoota ekwata ku kuttibwa kw’eyabadde minister omubeezi ow’abakozi Rtd col Charles Okello Engola Macodwogo, eyakubiddwa omukuumi we amasasi n’amutta.
Omujaasi UPDF Wilson Sabiiti yeyasse minister n’alumya n’omukuumi omulala bweyabadde ava mu makage e Kyanja Kawempe division mu Kampala, oluvannyuma naye neyetta.
President Museveni mu bubaka obukubagiza bannauganda, atenderezza omugenzi Engola,olwemirimu gyakoledde eggwanga.
Museveni agambye nti yasooka okulaba Omugenzi Col Charles Engola mu mwaka 1986, mu nkambi y’amagye eyali mu Lubiri lwa Kabaka olw’e Mengo bwerwaali terunazibwayo eri Obwakabaka, nga yali mudduumizi w’ekibinja ky’amagye ki Anti-Air -Craft Gun.
Museveni anyonyodde nti Omugenzi yakola nnyo mu kulwanyisa abayeekera ba LRA, era eno yakolera nnyo abantu, nebamuwa nerinnya erya Macodwogo.
Museveni anyonyodde nti obukozi bw’omugenzi ono,bwebwamuwaliriza okumulonda kubwa minister.
Okusinziira ku Museveni ,omujaasi okutta minister gwabadde akuuma musango munene nnyo , mu nkola ya mwoyo gwa ggwanga.
Museveni agambye nti singa omutemu teyesse, yandisomeseddwa essomo, wabula kino tekiggya kusoboka olw’ensonga nti yesse.
Okusinziira ku Museveni, waliwo okunonyereza okukyagenda mu maaso, era alinze alipoota eva mu kunoonyereza, kwaggya okusinziira okwogera ku nsonga z’abasirikale abakuuma abakungu mu ggwanga.
Omugenzi Minister Okello Charles Engola MacOdongo abadde minister omubeezi ow’abakozi n’emirimu, era yaliko minister omubeezi ow’ebyokerinda.
Yaliko omubaka wa Oyam North.
Yaliko ssentebe wa district ye Oyam.
Yaliko omuduumizi w’ekibinja ekya 501 eky’eggye lya UPDF e Ggulu, n’annyuka amagye mu 2007.
#