President Yoweri Kaguta Museven kyaddaaki akkiriza okubaako enkyukakyuka ezikolebwa mu ndagaano y’emmwanyi, government gyeyakola ne kampuni yomukyala Enrica Pinetti munnansi wa Italy eya Vinci Coffee Co.ltd.
Endagaano Eno eyayogezza bannansi ebisongovu, kumpi obuvunaanyibwa bwonna obuddukanya emmwanyi mu Uganda yali ebuwadde kampuni eno, saako okugiggyako emisolo, amasanyalaze, n’okugiwa ettaka yiika 25 okulina okussibwa ekkolero lya kampuni eno.
Parliament emaze ebbanga lyayezi esatu nga yetegereza endagaano eno, n’okwebuuza ku bantu abenjawulo abakwatibwako ensonga.
Parliament yasalawo endagaano eno esazibwemu, wadde nga president Museven yali abasabye nti ereme okusazibwamu.
Omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa mu bubaka bwatadde ku kibanja kye ekya Twiiter akigoongaanyiza nti baayogedde n’omukulembeze weggwanga nakkiriza wabeewo ebitereezebwa mu ndagaano eno.
Thomas Tayebwa anyonyodde nti mu kiseera ekituufu ,omukulembeze w’eggwanga ajja kutegeeze eggwanga ebigenda okutereezebwa mu ndagaano eno.
Parliament yawa governemnt emyezi mukaaga ennyonyole ekinaaba kituukiddwako mu kusazaamu endagaano eno.