President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa akakasizza nti abayeekera b’akabenje ka ADF bebasse abalambuzi mu kkuumiro ly’ebisola erya Queen Elizabeth National park, n’ategeeza nti abajaasi ba UPDF bagenda kubayigga babatte babamalewo.
Abalambuzi 2 okwabadde munnansi wa south Africa n’owa Bungereza saako munnayuganda eyabadde abalambuza battiddwa n’emmotoka yaabwe nekumwako omuliro, mu kuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National park ku luguudo Katwe Kabatoooro mu bitundu bye Kasese.
Mu bubaka President Yoweri Kaguta Museveni bwafulumizza akakasiza nti abalambuzi abattiddwa baabadde bagole, abaabadde bazze mu Uganda okuwummulamu mu ggandaalo lya honey muuni.
Museveni agambye nti government ya Uganda ng’eyita mu bitebe byayo mu mawanga abagenzi gyebava okuli Bungereza ne South Africa ,yakutuukirira family z’abantu abo, okulaba nti Uganda ebawa obuyambi obwetaagisa mu kiseera eky’okusoomozebwa kuno.
Wabula Museveni alagidde ebitongole byebyokwerinda okuli amaggye, police nebirala nti bikyuseemu mu nkola yabyo eyokwanganga bannalukalala ba ADF.
Agambye nti oluvanyuma lw’amaggye ga Uganda okufufuggaza aba ADF mu bitundu bya DRC abaasigalira nebaddukayo nebadda mu Uganda, nti bebakola ebikolwa ebyekittujju ebyo.
Agambye nti government ye egenda kubanganga era yakubawangula nga bweyawangula abayeekera ba Kony nababbi b’ente e Karamoja.
Museveni era alagidde ekitongole ky’ebisolo mu ggwanga ki Uganda wild life Authority nti kizibe emiwaatwa gyonna egyavuddeko abalambuzi bano okutuusibwako obulabe.
Agambye nti obuzibu bwavudde kukuba nti obukuumi obuweebwa ekitongole kino eri abalambuzi nti bwakomye mu kiseera nga balambula, bwebaamalirizza olwo ekitongole nekibaleka ku kwabwe kyagambye nti kyetaaga okutereezebwa.#