President Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa mwenyamivu nti omugenzi Jacob Lokori Oulanyah, teyamutegeeza ku bulwadde bweyalina mu kiseera ekituufu, nga yatuuka okumanya ng’embeera esajjuse olwo yali agenze kujanjabibwa Dubai.
President Museveni agambye nti embeera omugenzi Jacob Oulanyah gyeyayisibwamu ey’okunoonya obululu obwenjawulo okuli ekifo kyobwa sipiika, ekya ssentebe wa NRM mu bukiika kkono bwa Uganda, n’okunoonya akalulu k’omubaka w’e Omoro, teyandibimukkirizza singa yali yamanya ku mbeera y’obulamu bwe.
Agambye nti yalina okusooka okulwanirira obulamu,n’agenda okujanjabibwa okusinga okwemalirira mu by’obufuzi ebyamukusaanyizza ennyo.
Alipoota z’abasawo zaalaze nti abadde atawanyizibwa ekirwadde ekya kookolo omukambwe amanyiddwa nga Lymphoma Cancer, ngono akwata ebitundu by’omubiri ebizimba obutafaali obulwanyisa endwadde mu mubiri.
Akulira eddwaliro ly’e Mulago erya Uganda Cancer Institute, Dr Orem Jackson, yasomye alipoota eyo ng’eraga nti omugenzi yafudde kirwadde kya kookolo omukambwe era kyekyaviriddeko okufa kwe.
Agambye Oulanyah yagenda okuzulwamu kkookolo ngali ku mutendera ogw’okusatu era babadde bagezaako okumusobozesa okubeerawo ekiseera ekiwanvuko ekitaasobose.
Agamba nti babadde bamusuubira okugira ng’abeerawo wakiri ebbanga lya myezi etaano,wabula ebitundu by’omubiri ebirala ng’omutima, ekibumba, akalulwe, n’ensigo byasirise kimu ku kimu olw’omubiri okuba nga gubadde tegukyaweesa butaffaali bulwanyisa ndwadde.
Dr. Olemu annyonyodde nti olw’omuggalo ogwaleetebwa Covid 19, gwalemesa sipiika Oulanyah okugenda e Germany okulaba abasawo be, n’agira ng’ajanjabibwa e Mulago okutuusa embeera lweyatabuse nebamuddusa mu America okwongera okujjanjabwa.
Wabula president Museveni bwabadde ayogera ku mikolo egy’okukungubagira omugenzi Jacob Lokori Oulanyah e Kololo, alabudde banna Uganda ku ndwadde ezisobola okwewalibwa nga kookolo, era avumiridde abasavuwaza ensonga z’obulwadde bw’abantu abalala.
President Museveni era alabudde akabondo kaabamu ku banna Uganda mu bendobendo ly’obukiika kkono bwa Uganda, ababadde bataddewo okwemulugunya ku nsonga ezikwata ku kunfa y’omugenzi Jacob Oulanya, nti basaanidde okukimanya nti abadde muweereza wa Uganda yonna sso ssi kitundu ekyo kyokka, newankubadde gyakiikirira.
Museveni era atenderezza emirimu omugenzi gyakoledde eggwanga omuli okugatta abantu n’okulwanirira eddembe ly’obuntu.
President Museven alabudde banna Uganda abazeemu nate okukulembeze enjawukana mu mawanga n’eddiini, n’okusosola abalala nti bakyewalire ddala, nti kigenda kuzza eggwanga emabega mu byenkulakulana.
Museveni agambye nti embeera eno, omugenzi abadde afubye okujiggyawo mu Uganda, era nti abadde agezaako okuteekawo obumu mu bantu abenjawulo,nga yeewayo nnyo n’okukubaganya ebirowoozo naabo ababalowozebwa nti baabulabe
Ssabalabirizi w’ekanisa ya Uganda The most Rev Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, n’abakulembeze b’ekkanisa lutikko ya All Saints Nakasero mu bulabirizi bwa Kampala, bebakulembeddemu okusabira omugenzi ku kisaawe e Kololo.
Abaana b’omugenzi abakulembeddwamu Diana Aceng bogedde ku mbeera kitabwe gyayiseemu mu budde bwe obwasembyeyo,era nti yali yabagaana okwogera mu bantu ku bulwadde obubadde bumuluma.
Abaana bategezezza nti kitabwe weyasiriza ogw’enkomerero baaliwo mu ddwaliro, nga bamwebulunguludde,kyebataamanya nti akadde akamusiibula kaali katuuse.
Omubiri gwa Jacob Oulanyah gutwaliddwa ku kyalo Lalogi gy’azaalwa mu district ye Omoro, gyegutuusiddwa ku ssaawa kkumi na bbiri ez’akawungeezi (6:00pm).
Gutwaliddwa mu nnyonyi y’amaggye AF-639.
Kampuni ya A-plus eyakoze ku kutambuza omubiri gw’omugenzi egutuusizza e Kyambogo, nebagukwasa abasirikale ba police n’amaggye abagutadde mu nnyonyi okugutwala e Omoro.
Jacob Lokori Oulanya yazaalibwa mu 1965 era afiiridde ku myaka 57.
Wakuziikibwa ku lwokutaano lwa wiiki eno nga 8 April,2022 ku biggya bya bajjajjabe mu district ye Omoro era gyabadde akiikirira.
Minister w’ensonga z’obwa president, era ssentebe w’olukiiko oluteekateeka okuziika omugenzi mu kitiibwa, Milly Babalanda, agambye nti omugenzi wakuzikibwa mu bitibwa by’eggwanga ebijjuvu.
Sipiika wa parliament omuggya era omubaka we Bukedea, Anita Annet Among, agambye nti omugenzi afudde musanyufu olw’okutuukiriza ekirooto kye ekyokubaako sipiika wa parliament, nti era abadde atenderezebwa nnyo mu mawanga agenjawulo olwobuweereza n’okulwanirira eddembe lyobuntu.
Ebyo nga bikyali bityo, government olwaleero okuyita mu muteesitesi omukulu mu ministry evunanyizibwa ku bakozi ba government eya Public Service, Catherine Bitarakwate Musingwiire, ekakasizza nti olunaku olwokutaano olwokuziikirako omugenzi Jacob Lokori Oulanyah, lwakuwummula okusobozesa okumuwa ekitiibwa ekimugwanira.