• Latest
  • Trending
  • All
President Museven agaanye eby’okusala omusolo ku bintu ebirinnye ebbeeyi – agambye mukekkereze byemusobola okugula

President Museven agaanye eby’okusala omusolo ku bintu ebirinnye ebbeeyi – agambye mukekkereze byemusobola okugula

May 22, 2022
Abakulembeze ba Buganda basomeseddwa ku bikwata kukusiga ensimbi mu migabo

Abakulembeze ba Buganda basomeseddwa ku bikwata kukusiga ensimbi mu migabo

October 4, 2023
Police eyimirizza eby’okwaniriza president wa NUP ku kisaawe e Ntebbe

Police eyimirizza eby’okwaniriza president wa NUP ku kisaawe e Ntebbe

October 4, 2023

FIFA U20 women World cup – Uganda erumbye Mozambique

October 4, 2023
Omusinga Charles Wesley Mumbeere atuuse ku butaka oluvannyuma lw’emyaka 7

Omusinga Charles Wesley Mumbeere atuuse ku butaka oluvannyuma lw’emyaka 7

October 4, 2023
Abata kazambi mu Kampala ng’enkuba etonnya baakukangavvulwa

Abata kazambi mu Kampala ng’enkuba etonnya baakukangavvulwa

October 4, 2023
Police ewandagazza amasasi e Ssembabule –  ddereeva wa mmotoka azibye ekkubo

Bus ya Global efunye akabenje – abasoba mu 50 basimattuse abalala bamenyesemenyese

October 4, 2023
Kenneth Kimera azannyira mu Gomba FC – yaasinze okucanga endiba mu September,2023

Kenneth Kimera azannyira mu Gomba FC – yaasinze okucanga endiba mu September,2023

October 3, 2023
Omuliro gusaanyizaawo police ku nsalo ya Uganda ne Kenya

Omuliro gusaanyizaawo police ku nsalo ya Uganda ne Kenya

October 3, 2023
Omwoleso gwa bannamakolero 2023 gutandise – gwesigamye ku bya mirimu n’omutindo gw’ebikolebwa

Omwoleso gwa bannamakolero 2023 gutandise – gwesigamye ku bya mirimu n’omutindo gw’ebikolebwa

October 3, 2023
BUCADEF efunye boodi empya – ekulirwa Dr.Benon Ssekamatte

BUCADEF efunye boodi empya – ekulirwa Dr.Benon Ssekamatte

October 3, 2023
Ameefuga ga Uganda ag’omulundi ogwe 61 – abantu 41 bebagenda okuweebwa emidaali

Ameefuga ga Uganda ag’omulundi ogwe 61 – abantu 41 bebagenda okuweebwa emidaali

October 3, 2023
Ababaka ba Acholi bakalambidde ku nsonga z’okusengula abalaalo mu kitundu kyabwe

Ababaka ba Acholi bakalambidde ku nsonga z’okusengula abalaalo mu kitundu kyabwe

October 3, 2023
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • Politics
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Funs Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • Events
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

President Museven agaanye eby’okusala omusolo ku bintu ebirinnye ebbeeyi – agambye mukekkereze byemusobola okugula

by Namubiru Juliet
May 22, 2022
in Amawulire
0 0
0
President Museven agaanye eby’okusala omusolo ku bintu ebirinnye ebbeeyi – agambye mukekkereze byemusobola okugula
0
SHARES
82
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven akawangamudde nti Uganda terina ntegeka yakukendeeza ku misolo gyebimu ku bintu ebirinnye ennyo ebbeyi, ebikaluubirizza obulamu bwa bannauganda.

President Museveni mukwogerakwe eri eggwanga, agambye nti government ssinga ekendeeza ku misolo gy’ebintu ng’amafuta, sukaali, sabuuni, nebirala yakufiirwa emisolo ejisoba mu kitundu ky’akawumbi, nga kwotadde ne shilling ya Ugabda okwongera okunabuuka nnyo.

Amagezi president Museveni gawadde banna Uganda kwekwesonyiwa ebintu ebimu okutuusa ebbeeyi lwerikendeera naddala ebyo ebisobola okwewalibwa, ate ebirala ebyetaagisa ennyo mu bulamu obwa bulijjo babikekkereze.

Museveni mungeri yeemu alabudde banna Uganda abatafuddeyo kujjumbira kulya emmere ennansi gyagambye nti esobola okuyambako okutaakiriza ku mbeera eriwo, era naddamu okukaatiriza ekyokulya muwogo n’akalo, mu kifo ky’okulya omugaati ogulinnye ebbeyi.

Ku nsonga yaamafuta agatakolebwa wano, agambye nti banna Uganda balina okujjumbira enkola endala eziteetagisa mafuta naddala ng’okukozesa amasannyalaze g’amaanyi g’enjuba nebirala, okukendeeza ku nkozesa y’amafuta gagambye nti gonoona n’obutonde bwensi.

President Museveni agambye nti ebbeeyi y’ebintu eyekanamye esaasaanidde n’amawanga amalala nti yavudde ku luttalo lwa Russia ne Ukrain n’envumbo ezatekebwa ku ggwanga lya Russia naddala ku mafuta.

Agambye nti n’obulwadde bwa COVID19 bwaviirako agamu amakolero agaali gafulumya eby’amaguzi ebiwera okuggalawo

President Museveni agambye nti wadde ebbeeyi y’ebintu erinnye nyo mu kaseera kano, nti naye eby’enfuna by’eggwanga bikyali bulungiko okusinga amawanga amalala mangi.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • Cbs Funs Club
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist