President wa Museven Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, akakasizza nti ekitongole ekikettera munda mu ggwanga Internal security organizations, (ISO), nekya Criminal Investigations Directorate (CID), bikutte abasajja 4 abaakulemberamu okutta munnamateeka Joan Kagezi.
Joan Kagezi nga yali muwaabi w’emisango gya government yakubwa amasasi nga 30 March, 2015 bweyali adda mu maka ge mu bitundu bye Kiwaatule.
President Museveni agambye nti abakwate bano 4 kuliko; Kibuuka John, Musajjage John, Kisekka Dan, ne Nasur Abdalla.
President Museveni agambye nti bano bebaali bataambulira ku bodaboda 2 abasindirira amasasi mmotoka ya Joan Kagezi, era nti bakusimbibwa mu mbuga z’amateeka akadde konna batandike okuwerennemba.
Bulijjo President Museveni akyogera lunye nti abatemu abaakuba Joan Kagezi babadde babawondera era nti essaawa yonna babadde baakubakwatibwa.
President mungeri yeemu agambye nti ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftiency of Military Intelligence (CMI), kiyigga n’abayeekera 7 abakabinja ka ADF ababadde bakolera mu kabinja ka Njovu Group, nti nga bano bebaakuba abalambuzi mu kkuumiro ly’ebisolo erya Queen Elizabeth National Park n’okukola obulumbaganyi ku ssomero lya Lhubiriha neritta abayizi abasoba mu 40.
Police n’amaggye gyebuvuddeko bakutte omusajja eyategerekeseeko erya Njovu, nti ono yabadde akulira akabinja ka Njovu group, akalina akakwate ku bayeekera ba ADF era nti ono yakwatibwa n’ebiwundu ebyenjawulo.
President era agambye nti waliwo n’abantu abalala 3 kwabo e 10 abaakola obulumbaganyi ku ssomero lya Lhubiriha abattibwa gyebuvuddeko, era nti beebamu bebaayokya mmotoka kika kya loole eyali etambuza obutungulu mu bitundu bye Congo-Kasindi.
Mwami Museveni agambye nti UPDF yakoze obulumbaganyi ku bayeekera bano nga bali ku lyato erimu ku nnyanja muttanzige (Edward), nti naye abamu nebesolossa nebadduka.
Bisakiddwa: Ddungu Davis