Omukulembeze wa Uganda Yoweri Tibuhaburwa Museven akomekkereza olugendo lwe olutongole, lwabaddeko ku muliraano mu Tanzania gyeyetabidde mu nsisinkano eyetabiddwamu abasuubuzi ba Uganda ne Tanzania.
President Museven abadde bumu ne kamukyaza Samia Suluhu Hassan mu maka g’obwa president mu Tanzania.
President Museven abategezezza nti ensi zino zombi ziteekeddwa okuteeka essira ku bintu ebizigatta era byezifaanaganya okusinga ebibaawula.
Agambye nti kye kiseera n’ensi z’omukago gw’obuvanjuba bwa Africa gweyongerayo ku mutendera gw’okubeera nóbukulembeze bw’ebyobufuzi obwawamu n’enteekateeka z’ebyenfuna nga ze zimu era nga bitambulira wamu okutuuka ku nkulakulana ey’omuggundu.
President Museveni era alambudde omwalo gwe Dar-es- Salaam ogumu kwegyo egiyitako eby’amaguzi bya Uganda awamu nóluguudo lw’eggaali y’o mukka olwa Standard Gauge Railway olusuubirwa okugatta ensi zino, nga yo Uganda tenalutandikako wadde Kenya ne Tanzania kumpi ezaabwe zinatera okuggwa.
Museveni era agenzeko ne ku kiggya kya kyómugenzi John Pombe Magufuli e Chato gyeyaziikibwa mu Tanzania naganzika ekimuli ku ntana ye.
President nga tanavayo era agguddewo esomero erimubuddwamu nga lino lituumiddwa Museven pre and Primary School nga limazewo akakadde ka doola za America kamu n’emitwalo nkaaga, mu za Uganda ze shilling obuwumbi nga butaano nóbukadde 920.