President Museven Yoweri Kaguta Museven alagidde Ssaabawolereza wa government okunoonyereza ku bitongole ebiwola ensimbi ku magoba agali wa ggulu n’obukwakkulizo obusukkiridde gebasaba bannauganda.
Agambye nti abasaba amagoba amangi babeera bakumpanya era abalyake abasukkiridde.
Annyonyodde nti enkola eyo ey’okubinika bannauganda amagoba amangi bakotoggera enkulaakulana y’eggwanga.
Wabula abamu ku bali mu mulimu gw’okuwola ensimbi bazze bewolereza nti ensimbi zebawola abantu ba bulijjo, nti nabo bazeewola mu bank ku magoba agali waggulu, saako ebintu ebirala ebiri ku buseere, omuli n’okusasula abakozi abalina okubanja ensimbi ezo n’emisoso emirala.
Mu ngeri yeemu President agambye nti ensimbi z’emyooga tezirina kuweebwa basuubula bintu okuva mu mawanga amalala naddala nga bivuganya n’ebikolebwa munda mu ggwanga.
President agambye nti sente z’emyooga zirina kuweebwa bantu abali mu mirimu gy’obulimi n’obulunzi, saako nabali mu by’obusuubuzi bwabyo n’ababyongerako omutindo.