Police e Kasangati eggalidde omuserikale waayo Kadda Samuel , ng’emulanga kusiwuuka mpisa n’akabassanya muwalawe ow’emyaka 13.
Omwana ono amannya gasirikiddwa, ategeezezza nti kitaawe bwebasula mu Kisenge ekimu ku buyumba obwakazibwako erya Maama Yingiya poole, alina omuntu gweyaloopedde embeera mwayita kwekutwala obuvunaanyizibwa okumutwala mu kitongole kya police eky’ensonga z’abaana n’amaka ayambibwe.
Amyuka Omwoogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwaano Luke Oweyisigire avumiridde ekikolwa kino, erq n’ategeeza nti agenda kusiimbibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe. b
Bano webituukidde nga abantu ku mitendera egyenjawulo omuli n’Ebitongole ebirwanirira eddembe ly’Obuntu bazze beemulugunya ku mbeera abaserikale gyebasulamu etasanyusa, erimu abantu abakulu okugabana aw’okusula n’abaana abato.
Mungeri yeemu police e Kawempe ekutte omuvubuka Ssemanda Tony bwemuzudde n’ebintu ebibbe, songa mungeri yeemu beyabibbako yasooka kubakabassanyiza mu bikolwa eby’omukwano.
Nga 17.8.2024 omukwaate kitegeerekese nti yasooberera omukyala owemyaaka 30 e Kawempe, naamubbako ensimbi, essimu ne TV.
Kizuuse nti Omukwaate Ssemanda abadde ne likoda y’emisango gy’obubbi, era nga gyebuvuddeko abadde yayiimbulwa okuva mu kkomera ku misango egyekuusa era ku bubbi, yabuzeemu era waakuzzibwaayo mu nkomyo.
Bisakiddwa: Kato Denis