Alipoota ya police ekwata kukutegulula bbomu eraze nti bbomu 6 zezakategululwa police erwanyisa bbomu, nga zino kigambibwa zizze zitegebwa mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo mu nnaku 2.
Okutega kwa bbomu zino kutaddewo obunkenke mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo, naddala mu masinzizo ne mu butale.
Waliwo ekiteeberezebwa okuba bbomu ekyasangiddwa mu flask y’emmere ku kkanisa y’Omusumba Robert Kayanja eya Lubaga Miracle centre, era omusajja Kintu Abdurahman ateeberezebwa okutega bbomu eno yakwatiddwa.
E Nateete ku Mabiito abaayo basiibye ku bunkenke, oluvannyuma lwekiteeberezebwa okuba bbomu okusangibwa mu kitundu kino, era emirimu gisannyaladde okumala kumpi olunaku lwonnna.
Abantu 5 mu kaseera kano bebaweenjezebwa, oluvannyuma lw’Okukizuula nti balina akakwate ku kutegebwa kwa bbomu zino.
Omwoogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga mu nsisinkano ne bannamawulire ku kitebe kya poliisi ekikulu e Naggulu, alabudde bannansi nti obutujju bukyaali kyakusomooza eri eggwanga.
Mungeri yeemu police mu greater Masaka eri mu nteekateeka ezisembayo okutwala mu kkooti omuvubuka ow’emyaka 25 Nsamba Gerald omutuuze we Kyakaggwa Kacinga mu district ye Rakai, agambibwa okusaangibwa n’ebintu ebiyambako mu kukolerera bbomu.
Bisakiddwa: Kato Denis