Club ya Police FC ebadde egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, esaliddwako neddayo mu kibinja kyawansi ekya FUFA Big League.
Police FC yesogga Uganda Premier League mu 1996, era ebadde amaze emyaka 26 nga tesalwako.
Police okuddayo mu kibinja kya wansi ekubiddwa BUL FC olwaleero goolo 5 – 2 e Lugogo mu Kampala.
Omupiira guno gutadde club ya Police mu kifo kya 14 n’obubonero 28, nga ne bwewangula omupiira ogusigaddeyo tesobola kuyisa club ya Busoga United eri mu kifo ekye 13 n’obubonero 32.
Police FC kati yegasse ku club ya Mbarara City ne Tooro United ezasalibwako edda okuddayo mu big league.
Club ezizeeyo zigenda kusikizibwa club ya Black Power, Maroons ne Kyetume ezasuumusiddwa okuva mu Big League, kati zakuzannya mu Uganda premier league season ejja.
Emipiira emirala egizanyidwa mu Uganda Premier League, Gaddafi ekubye KCCA goolo 1- 0.
Express FC mukwano gwabangi eremaganye ne UPDF 0 – 0.
Vipers ekubye Wakiso Giants goolo 2 – 1.
Bright Stars ekubye Onduparaka goolo 3 – 1.
Busoga United ekubye URA goolo 3 – 2.
Mbarara City ekubye Tooro United goolo 8-2.
Ttiimu kati zirwana kumalayo mipiira gyazo, Vipers FC ekikopo yakiwangula dda.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe