Police y’e Mpigi kyadaaki ezudde emmundu ebadde ebbiddwa abazigu abazinze essundiro ly’amafuta erya Mogas petrol station ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka ng’oyingira town ye Mpigi.
Emmundu eyo ekika Kya SMG esangiddwa ku kyalo Ggala kyesuddeko ebbanga lya kilometre nga emu okuva ku ssundiro ly’amafuta ababbi lyebazinze mu kiro rkikeesezza leero.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Katonga Lydia Tushabe ategezezza CBS emmundu eyo ababbi baagisudde kumpi n’ekifo webamerusiza emiti kukyalo Ggala,era abakola mu mmerusizo eyo bebagizudde nebatemya ku police.
Kigambibwa nti abazigu 6 balumbye essundiro Lya Mogas Mpigi nga nga balina ennyondo n’amajambiya nebatema abakozi 2 ku ssundiro eryo .okubadde Atuhairwe Paul Ono y’abadde n’emmundu, nebatema n’omukuumi omulala Magezi Muhammad.
Abakuumi bombi baddusiddwa mu ddwaliro lya Double cure hosipital e Kalagala Mpigi, ng’mbeera mbi.
Bisakiddwa: Sserugo Patrick