Ab’ebyokwerinda mu bukiika ddyo bwa Uganda baliko ebibokisi bibiri ebiteberezebwa okubaamu amasasi byebazudde mu muzigo ogumu e Kyabakuza mu Division eya Kimaanya-Kabonera mu Masaka City.
Amyuka Omubaka wa Pulezidenti mu kibuga Masaka atwala Division eya Kimaanya-Kabonera, Haji Ahmed Katerega Musaazi agambye nti omuzigo mwebasaanzemu ebibokisi bino waliwo omupangisa eyagulimu naalemererwa okusasula naabulawo.
Nnyini nnyumba bwagenze okukebera omupangisa byeyaleka mu nnyumba asanzeemu bibookisi ebitateegerekeka birimu, kwekutemya ku police n’eziggyayo.
RCC Ahmed Katerega Musaazi agambye nti oluvannyuma waliwo abantu abakwatiddwa batayatuukirizza mannya nga nabalala bakyanoonyezebwa, nti kuba abamu ababadde baalabwako mu nnyumba eyo, abebyokwerinda baludde ng’ababalondoola kubyekuusa ku butujju.
RCC alabudde abantu mukitundu kino ekya Greater Masaka okukimanya nti abatuujju mwebali era n’enfo zabwe mweziri naye abebyokwerinda babalinya kagere nasaba abantu buli omu okuba mbega wamunne.#