Police ezinzeeko ababaka ba parliament abakyala ababadde bagenda ku ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga, okwemulugunya olw’ebitongole ebikuuma ddembe okubatulugunya.
Ababaka bano abambadde gomesi enzirugavu police ebasanze bakafuluma ekizimbe kya parliament nebazingako nebassa mu mmotoka ezaakazibwako eza drone nebatwala.
Ababaka bano abakyala ab’oludda oluvuganya bagamba nti basusse okutulugunyizibwa ebitongole ebikuuma ddembe buli lwebagezaako okukola emirimu gyabwe mu bitundu byebakiikirira.
Abakasembayo okuloza ku bukaawu b’ebitongole ebikuuma ddembe ye mubaka omukyala ow’e Buvuma Susan Nakaziba Mugazi ne Joyce Bagala ow’e Mityana abaali bategese emikolo gy’olunaku lw’abakyala mu bitundu byabwe nebakubwa abakuuma ddembe.#