Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu 34 abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka obuzze bukolebwa mu bitundu bya Kampala.
Abantu bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa police n’ebitongole ebikuuma ddembe ebirala, mu division za Kampala zonna ne district ye Mukono ne Wakiso.
Okusinziira ku police bano basangiddwa n’ebintu ebikozesebwa mukubba sso nga era babadde bateega mmotoka ezitambula ne banyaga abazitambuliramu, okunyakula essimu, obusawo bw’abakyala n’ebirala.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti abakwate bakuumibwa ku police ya CPS mu Kampala, gyebagenda okugibwa nga fayiro zabwe ezibalumika ku misango ziwedde okolebwa, olwo batwalibwe mu kooti bewozeeko.#