
Omumyuka wa Ssaabaduumizi wa police ya Uganda Maj.Gen Tumusiime Katsigazi alagidde abaduumira police mu ggwanga lyonna, okukolagana ne police z’ebitundu n’abakulembeze, okuvunaana abawogganya ebidongo naddala mu bifo omusula abantu.
Ekiragiro kino kitwaliramu amabaala n’amasinzizo agawogganya ebidongo emisana neekiro nga abantu beebase, nebatafuna kuwummula kumala.
Maj. Gen. Tumusiime Katsigazi abadde mu lukungaana lwa bannamawulire e Naggulu,n’agamba nti ekkanisa ezirekaanya emizindaalo wamu n’amabaala birina okufuna olukusa okuva mu kitongole ki NEMA.
Agambye nti naabo ababeera bafunye olukusa okuwogganya ebidondo , balina okubaako ne kkomo, naddala abali mu bifo ebisulamu abantu.
Mungeri yeemu Maj Gen Katsigazi alabudde bannansi ku butujju obuyinza okweyolekera mu bifo ebimenyeddwa,kweekusaba ababiddukanya okubeera obulindaala ekiseera kyonna.