Police mu Kampala n’emiriraano ekutte abantu babiri bagiyambeko mukunoonyereza kwetandisile kukavuvungana akabaddewo wakati w’omuyimbi Mugwanya Patrick amanyiddwa nga Allien Skin n’omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo.
Akavuvungano kano kabaddewo akawungeezi ka nga 07 November,2023 mu bitundu bye Kiruddu e Luwafu mu gombolola y’e Makindye mu Kampala mu kifo webooleza emmotoka ekigambibwa nti kya Andrew Mukasa Bajjo.
Kigambibwa nti akavuvungano kano kaaviiriddeko n’emmotoka ya Bajjo No.UBK 123C okwonoonebwa abavubuka Allienn Skin beyabadde atambula nabo.
Abakwatiddwa ye Ibra Kabadia omu kubabera ne kibinja omuyimbi Allein Skin kyatambula nakyo, ne Okalebo Vincent omukuumi wa kampuni y’obwannanyini eya Caltec Security, bakuumibwa mu kadduukulu ka police e Katwe mu Kampala.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti Omuyimbi Allien Skin naye bamwetaaga abeeko byannyonyola kukavuyo akabaddewo.
Luke era alabudde Allien Skin n’ekibinja kye okwewala okukola efujjo ku bantu n’okutaataganya emirimu gyabalala.#