Police mu Kampala némiriraano eyisizza ebiragiro ebiyimiriza mbagirawo olukungaana olubadde lutegekeddwa abasuubuzi abegattira mu kibiina ki Kampala new generation traders Association.
Abasuubuzi babadde bagenda kukubaganyiza ebirowoozo ku nsonga ezikosa emirimu gyabwe.
Abasubuuzi baategeka olukungaana luno nebategeeza police, wabula balabiddewo awo nga bategeezebwa nti police eruyimirizza nti lwanditaataganya eby’okwerinda by’ekibuga.
Abasuubuzi babadde bagala okwogera ku nsonga yabannabwe 81 bebagamba nti abagagga ba nnyini bizimbe bazze babamenyera amadduuka gabwe nebatafuna bwenkanya ,okwogera ku misolo emipya,ebbeeyi ye bintu ebyekanamye mu ggwanga basalire wamu amagezi n’ebirala.
Mu biragiro ebiyisidwa Police erabudde abasuubuzi nti singa balemerako nebatuuza olukungaana luno bagenda kukwatibwa.
Era Police ebalagidde nti olukungaana luno abasuubuzi bwebaba bagala okulutuuza balufulumye ekibuga Kampala.
Abasubuzi abegatira mu kibiina kyabwe ekya Kampala New Generation Traders Association nga bakulembeddwamu John Kabanda nebane ababadde emabega wólukungaano luno bakukulumidde ebitongole ebikuuma ddembe olwókubalinda nebateeka ensimbi mu lukungaana luno ate nebamala nebabalemesa.
Abasuubuzi babadde baayise minister omubeezi owébyobusuubuzi Harriet Ntabadde era ye agamba nti olukungaana luno taluyinaako buzibu ne bwerubeera mu luguudo wakati ayagala kuwuliriza nsonga zábasuubuzi zisalirwe amagezi
Wabula omwogezi wa police mu Kampala némiriraano Patrick Onyango agambye nti abasuubuzi eby’olukungaana babyesonyiwe bakole ebirala, oba balutwale ebweru wa Kampala.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge