Police ya Uganda eyimirizza mbagirawo enkungaana z’ekibiina ky’eby’obufuzi ekya National Unity Platform, ng’egivunaana obutagoberera mateeka.
Okusinziira ku kiwandiiko kya police ekissiddwako omukono gw’omumyuka wa ssaabaduumizi wa police Katsigazi Tumusiime kitegeezezza nti Police era eyimirizza enteekateeka ya president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ez’okutalaaga eggwanga n’okuggulawo offiisi z’ekibiina ki National Unity Platform okubadde kugenda mu maaso.
Police egamba nti abantu babadde tebagoberera mateeka omubadde okuvvoola amateeka g’enkungaana n’entambula y’ebidduka.
Mu kiwandiiko kiraze nti enkungaana za Robert Kyagulanyi Ssentamu zibaddemu okwogera ebigambo ebikaawa ebikuma omuliro mu bantu, okuvvoola abakulembeze n’ensonga endala nyingi.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga, ategeezezza bannamawulire nti okutuusa nga bannakibiina ki NUP nakkirizza okugoberera amateeka n’ebiragiro, tewagenda kuddamu kubaawo lukungaana lukubwa banna NUP.
Enanga ategeezezza nti ebikolwa ebyokutiisatiisa abantu ,Obubenje obuzze bubeera mu nkungaana kko n’effujjo erikolebwa ku bannansi mu nkungaana zino tebiyinza kulekebwa kugenda mu maaso.
Kinajjukirwa nti Robert Kyagulanyi Ssentamu bweyabadde ayogerako eri abantu be Luweero ssabbiiti ewedde ,yabategeezezaa nti enkungaanaze poliisi erina entekateeka eziwera, nga agamba kino kyandikolebwa okumulemesa okwogerako eri bannaKampala gyebugyako.#