Ab’eby’okwerinda mu Kampala n’emiriraano balagidde abakulembeze b’ekibiina kya NUP okuyimiriza enteekateeka gyebabaddeko ey’okukunga abantu okweyiwa mu bungi ku kisaawe ky’ennyonyi e Entebbe okwaniriza President w’ekibiina kyabwe Robert Kyagulanyi Ssentamu okuva emitala w’amayanja
Enteekateeka eno babadde bagituumye One Million match.
Patrick Onyango omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano agambye nti bafunye amawulire agalaga nti abakulira ekibiina kya NUP bateeseteese okukumba okuviira ddala ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe okutuuka mu maka ga Kyagulanyi e Magere.
Onyango agambye nti okukumba kuno okwa banna NUP kuyinza okusannyalaza emirimu ku luguudo lw’entebbe n’ebintu ebirala, so ng’era kumenya mateeka nga basaanye okukuyimiriza amangu.
Onyango ategezezza nti ebitongole by’eby’okwerinda byetegefu okwanganga abantu bonna abanaalemerako nebategeka okukumba kuno police kwegamba nti kumenya mateeka.#