Ssabapolice wa Uganda Martin Okoth Ocholla alagidde abaserikale 11 abeenyigira mu kukuba omubaka omukyala akiikirira Buvuma mu parliament Susan Nakaziba Mugabi bayimirizibwe ku mirimu, nga bwebanonyerezebwako olw’enneeyisa etali ya buntu.
Mu bayimiriziddwa kuliko amyuka omuduumizi wa police mu bendobendo eryo Jamal Kanyesige ,aduumira police e Buvuma Bagoole Michael, Odek Francis n’abalala.
Kigambibwa nti abaserikale 11 bano oluvannyuma lwokukuba omubaka Susan Mugabi munna NUP wamu ne banne abalala 4, baalabikira mu katambi nga babasamba ensambaggere ekintu ekikontana n’amateeka agabasomesebwa mu kukwata abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka.
Omubaka Nakaziba okukubwa yali agenda ku mukolo gw’olunaku lw’abakyala olwali lutegekeddwa e Buvuma, police ng’egamba nti yali terukkirizza kubeerawo.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga , ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police ekikulu e Naggulu nti okunoonyereza wekunaggwera waliwo abaserikale abagenda okuvunaanibwa.
Mu kiseera kino omubaka akyajanjabwa mu ddwaliro e Lubaga.
Bisakiddwa:Kato Denis