Police eyiiriddwa ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi okutaangira ebikolwa ebyefujjo ebiyinza okuvaamu okuyiwa omusaayi.
Abamu ku bannakibiina bakedde ku kitebe ky’ekibiina mu kwetaba mu lutuula lw’akakiiko akookuntikko ak’ekibiina aka National executive Council.
Waliwo abagambibwa okuba ba kannyama abalabiddwako nga bakutte emiggo munda mu kitebe kya FDC.
Gyebuvuddeko ssentebe w’ekibiina Wasswa Biriggwa yawambibwa munda mu kitebe abagambibwa okuba ba kanyama okumala essaawa eziwera era okufulumayo yalinnya kikomera n’atolokayo.
Bannamawulire abawerako baakubwa nebabaleka nga batiriika musaayi n’abandi n’ebabbibwako amasimu gabwe, ng’abantu abaabatusaako obulabe bafubutuka munda mu kitebe kya FDC.
Wabalukawo obutakkaanya mu bakulembeze ba FDC ng’abamu balumiriza president wabwe Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala Mafaabi okubeera mu nteekateeka z’okutunda ekibiina kyabwe eri NRM eri mu buyinza.#