Amasasi gavuze mu town ye Kyabi mu district ye Ssembabule oluvannyuma lw’omugoba wa lukululana No. T 173 DWW nga munnansi wa Tanzania okusimba emmotoka mu kkubo wakati, nga yekalakaasa olw’emmotoka ye okutomera ente.
Ente zibadde zisala ekkubo mu kitundu omutali kapande konna akalabula, lukululana kwekutomerako emu ekiviiriddeko emmotoka okugooma mu maaso waayo.
Wabula police bwezze terina kyekozeewo kuwaliriza nnyini nte okukozesa emmotoka egoomye ekinyiizizza dderreeva n’asimba mmotoka mu kkubo wakati neyeggaliramu ekisannyalazza entambula.
Mmotoka eziva e Kampala n’eziva e Ssembabule tewali ebadde eyita.
Kigambibwa nti police egezezzaako okukonkona emmotoka dereeva neyerema, ekiddiridde police kuwandagaza kyasi mu bbanga, era ddereeva neyerema okuggulawo.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito