Ekitongole kya police ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID kitandise okubuuliriza ku kwemulugunya kweyali aduumira police y’ebikwekweto mu Kampala n’emiriraano Sam Omara, okw’abasirikale abamu okuddibaga emisango nga bakolagana nábabbi.
Sam Omala eyali Commissioner wa police ya Uganda nawummula, wiiki ewedde yasinziira mu lukungaana lwa bannamawulire mu Kampala, nawanjagira Ssaabaduumizi wa police Martin Octho Ochola, okuyingira mu nsonga za bantu abamutiisatiisa okumutta,nti olwokugaana enguzi ya bukadde bwa shs 50.
Afande Sam Omara ajjukirwa nnyo mu bisale bya ‘walk to work’ ng’ayimiriza eyali president wa FDC Col Kizza Besigye okuyingira ekibuga Kampala, bwebaali balaga obutali bumativu olwe bbeeyi y’e bintu eyali wagggulu, bweguli ne mukaseera kano.
Afande Sam Omara agamba nti abagala okumutta, nti kyava ku bagambibwa okubba emmotoka ennene zi Wetiiye 2 eza kampuni yo mu china Kevin Zhang emanyiddwa nga CJ SMART CARGO UGANDA.
Abagambibwa okuba nti baali bazibbye ye Kavuma John Bosco ne Ivan Mirimu.
Sam Omala yakolako mu CJ SMART CARGO UGANDA nga manager omwaka oguwedde, era eno gyebaali bagala okumuweera enguzi ya bukadde 50 ave mu ensonga zino, nti kyokka naagaana nabakwasa police ekola ku by’okunoonyereza.
Sam Omara agamba nti olwenguzi ne kawukuumi ajjudde mu police, ayolekedde okudduka mu ggwanga, olwabasirikale ba police okukwatagana n’abagambibwa okugezaako okumuwa enguzi, nebatandika okumutiisatiisa okumutta.
Agamba nti ng’oggyeko okumutiisatiisa kati batandise nokumujwetekako emisango ye ne munamagye Maj. Okware Henry Stephen bwebaakwata abantu bano, nti baabatulugunya saako okubawaliriza okutunda ebintu byabwe nti babawe enguzi kyagamba nti sikituufu.
Sam Omara alumiriza nti bino babijweteka kubuza musango, nti era kigambibwa nti baatuuse nookutta omu ku basibe abali mu musango guno ayitibwa Kavuma John Bosco ng’okukunonyereza tekunaggwa.
Omara yasaba Ssaabaduumizi wa police Martin Ocotho Ochola okusaawo akakiiko kenjawulo okunonyereza ku ensonga zino, nti kuba yamuwandiikira kyokka tafunanga kuddibwamu.
Mungeri yeemu Omara yasuubiza nti nga tanawanganguka kudduka mu ggwanga, wakusigala ng’ayogera ku bulyi bwenguzi obuli mu police, okutuusa nga eterezeddwa.
Omala yennyamira nti olaba ye omusirikale ali ku ddaala eryo basobola okumuyisa mungeri eyo ku bantu beyekwatiira abazzi b’emisango,nti ate olwo omuntu wabulijjo atalinako ayamba.
Omara agamba nti yatuuka n’okuwandikira Ssaabawaabi w’e misango gya government omulamuzi Jane Francis Abodo eyamukwasa omulamuzi ku court ya Buganda Road okukola ku ensonga ezo.
Wabula nti ne gyebuli eno tewali kyali kikoleddwa okujjako okumutiisatiisa nga bwebagenda okumutwala gweyeyimirira afande Muhammed Kirumira gyeyalaga, olwokwogera amazima.
Omwogezi wa police Fred Enanga ategezezza nti emisango Sam Omara gyayogerako gikyanonyerezebwako aba CID e Kibuli, era naye police emwetaaga alina emisango gy’alina okwennyonyolako ku nsonga ze zimu.
Fred Enanga ategezeza nti baawabudde Sam Omara nti agenda akole alipoota ku police ku byeyayogerako, nti waliwo abamutiisatiisa okumutusaako obulabe.