Police ye Kabalagala ku nkingizi z’ekibuga Kampala etandise okunoonyereza liteeberezebwa okubeera ettemu omufiiridde abantu babiri.
Abagenzi kuliko Ssenkungu Anold atemera mu gy’obukulu 24 ne Atwine Shina ow’emyaka 21, nga batuuze ku kyalo Mosque Zone mu muluka gwe Kibuli Makindye division.
Bazuuliddwa mutuuze munnaabwe Frank Sserunjogi amakya ku makya, era emirambo gyombiriri gisangiddwa mu bitaba by’omusaayi.
Omwaami Ssenkungu Anold asangiddwako ebiwundu ku nsingo ne mu kifuba, songa omukyala Atwine Shina asangiddwako ekiwundu kimu ku bulago, nga waliwo akambe akamubadde okumpi.
Kiteeberezebwa nti omukyala Shina yandiba nga yaafumise bba ebiso ebimugye mu budde olwo naye neyegyawo, nga bano balese omwana ow’emyezi etaano egy’obukulu.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyisigire , ategeezezza nti emirambo gy’abagenzi gitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa, nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis