Police e Ntebe etandise okunoonyereza ku kituufu ekyaviriddeko abaagalana 2 okufiira mu kidmdiba ewasimwa omusenyu, ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale ku kyalo Nkumba Bukolwa Mu Town Council eye Katabi.
Kigambibwa nti Edith Namirembe n’omwami we Ssentongo Jude bagenze ku nnyanja okunabaako, kyokka nebagwa mu mazzi tebazeemu kulabikako.
Okusinzira ku police, abatuuze bebaagudde ku ngoye z’abaagalana zebaabaddemu era kwekutegeza police ye Entebbe .
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti omulambo gwa Ssentongo bagufunye era gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa, sso nga ogwa Edith Namirembe tegunalabika.
Bisakiddwa: Kakooza George William