Police n’amagye gatandise okunoonyereza ku musirikale waayo Corporal Madri Henry agambibwa okuba nga yatemuddwa ku mwalo gwe Kasenyi ku kyalo Bendegere Nkuba Katabi Town Council.
Kigambibwa nti omusirikale ono abadde yakava e Somalia, era nti yabadde agenze kwefunira ku bakyala bannekolera gyange ku mwalo e Kasenyi.
Omurikale ono abadde akolera mu nkambi y’amagye ga SFC e Kasenyi, era nti yakomye okulabwako akawungeezi ka sunday nga 01 October,2023 era teyazeeyo gy’abadde asula.
Amyuka ssentebe w’ekyalo Nkumba Bendegere Robert Mulondo agambye omuyiggo gw’omusirikale ono bwegutandise nga bakozesa embwa ya police ekonga olusu, yebatuusizza ku kayumba akabadde kasibiddwako kkufulu neremera awo.
Ssentebe agamba police eyongedde okwekeneenya akayumba, kkufulu ebaddeko amatondo g’omusaayi nga n’amalala gatonnye ku mulyango.
Police n’amagye gatandise okunoonyereza oba ng’omusirikale ono yattiddwa walala n’aleetebwa n’asuulibwa mu kayumba ako, oba ng’aliko nnekolera gyange eyamutuusizaako obulabe.
Bisakiddwa : Kakooza George William