Police mu Kampala némiriraano ekoze ekikwekweto ku bagoba ba Bodaboda abasuka mu 500 bayooledwa ne bodaboda zabwe.
Waliwo bodaboda ezikwatiddwa olw’obutaba na bisaanyizo ne bannyinizo ababadde tebalina driving permit.
Ebikwekweto bulijjo ebikolebwa ku bodaboda abagoba baazo babadde babataliza,naye ku mulundi guno nabo bakubiddwa mu budduukulu lwabutaba na driving permit.
Mawejje Frank omukulembeze wábagoba ba Bodaboda mu Kampala agambye nti ekikwekweto ekikoledwa kibadde kyakibwatukira, nti kubanga police yali yalangirira kubitandika Monday ya wiiki ejja.
eero kibakoze bubi nti kubanga banabwe bangi bayoledwa ate nga ebikwekweto byaali byalangiridwa Police nti bitandika balaza ya sabiiti ejja.
Police tenalangirira muwendo mutuufu gwábantu bakwatiddwa mu kikwekweto kino ekigobye nabamu ku ba bodaboda mu kibuga wakati.
Bisakiddwa: Sharif Lukenge