Ekitongole kya police ekivunaaònyizibwa ku kunoonyereza ku misango ki CID kitaddewo ensimbi obukadde 10 obugenda okuwebwa omuntu yenna anabawa amawulire agakwata ku mayitire g’omusomesa waKyambongo University, agambibwa okukabasanya omuyizi aliko obulemu gw’obutalaba.
Atereddwako ssente ye Dr. Erone Lawrence abadde akulira ebbanguliro ly’abayizi abaliko obulemu mutendekero wa Kyambongo University.
Kigambibwa nti omusomesa ono yabuzabuza omuyizi ono owemyaka 16 gyokka egyobukulu, namutunuza mu mbuga ya siitani.
Police egambye nti okuva omuyivu ono Dr Erone Lawrence lweyakola ekikolwa eky’ensonyi kino, yadduka era nga kati anonyezebwa abeeko byannyonyola.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga asinzidde mulukungana lwa banamawulire ku police e Naguru nasaba abantu okukolera awamu ne police bagiwe amawulire ku musomesa ono asobole okukwatibwa.#