Police etaddewo obukadde bwa shs 10 eri omuntu yenna anaabawa amawulire agakwata ku musajja ayitibwa Luggya Bbosa Tabula, agambibwa okukulemberamu omupango gwonna ogw’okutemula eyali omutaka w’ekika kye Ndiga Lwomwa Eng. Daniel Bbosa.
Omwogezi wa police ya Uganda Fred Enanga ategeezezza nti okunoonyereza kwebaakakola kulaga nti Tabula yeyapangisa abasajja abaasasira emmotoka y’ omutaka ebyasi ebyamuttirawo bweyali anaatera okutuuka mu maka ge e Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Omutaka Eng.Daniel Bbosa yali atambulira mu mmotoka No.UAK 637X, era ng’ettemu lino lyaliwo nga 25 February,2024.
Luggya Bbosa Tabula ow’emyaka 38 agambibwa okwemulula naabulawo, abadde mutuuze ku kyalo Kabango mu muluka gwe Kakoola mu district ye Mpigi.
Fred Enanga ategezeza nti bataddewo nobukadde bwensimbi za Uganda 10 eri omuntu yenna anabawa amawulire agakwata ku Tabula gyeyekukumye, era n’alabula abantu nti singa omuntu yenna anaagezaako okumukweka naye wakuvunaanibwa.
Enanga ategezezza nti abantu 7 bebaakakwatibwa nga bateeberezebwa okwenyigira mu lukwe lw’okutemula abadde Lwomwa w’ekika ky’Endiga Omutaka Eng.Daniel Bbosa.
Agambye nti ebibakwatako ebisingawo bakubibuulira eggwanga, ng’omuwaabi wa government amaze okulungamya ku fayiro ekwata mu musango guno.
Eng.Daniel Bbosa yaziikiddwa ku butaka bw’ekika e Mbaale Mawokoata Mpigi.
Omutaka Eria Lwasi Buuzaabo era nga y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze, yeyatiuziddwa nga Lwomwa omuggya nadda mu bigere bya Eng.Daniel Bbosa.#