
Police eyongedde eby’okwerinda ku biggwa by’abajulizi e Namugongo.
Wateereddwawo n’ebifo ebyenjawulo abantu ababeera bafunye obuzibu obwenjawulo webagenda okwekubira enduulu.
Abasirikale ba police abali mu byambalo basiiba balawuna ekitundu kyonna saako ne mmotoka eziriko ebyuma ebyomulembe ebyetoolodde Namugongo nga birawuna.
Mu ngeri yeemu Police etaddewo enamba z’essimu abantu zebakubako nga waliwo ensonga yonna eyetaaga okukolebwako amangu, omuli n’ebyokwerinda.
Essimu ziri; 0800199699,
0707-600773
0776-999136