Ebitongole by’eby’okwerinda wano mu ggwanga bisambazze eby’ekitongole ky’amawanga amagatte ebiraga nti kyafulumizza ekiwandiiko ekikwata ku nguudo okuli olwa Northern Bypass ne Entebbe Express Highway nti ssi nnungi kuvugirako olw’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka ebibeera ku nguudo zino.
Ekitebe ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekiri wano munda mu Uganda kyalabudde abakozi babwe okwewala okuvugira ku nguudo okuli olwa Entebbe Express Highway ne Northern by pass naddala obudde obw’ekiro okutandika essaawa 4 okutuuka ku ssaawa 12 ez’okumakya, nti kubanga zibeerako ababbi abatigomya abantu abavugira ku nguudo zino.
Mu kuwabulwa kwabwe ab’ekitongole ky’amawanga amagatte kyalagira ne baddereva obutavugira ku nguudo ezo mu budde obw’ekiro
Fred Enanga omwogezi wa police mu ggwanga agambye nti police etadde nnyo essira kukukuuma obutebenkevu ku nguudo ezo, nti nga n’obubinja obwali butanudde okukola ebikolwa ebyekko ku nguudo ezo bwonna baabusaanyaawo.
Fred Enanga agambye nti bagala ab’ekibiina ky’amawanga amagatte babawe alipoota eraga nti enguudo zebayogeddeko nti ssi nnungi kuvugirako, era baleete n’obukakafu oba nga waliwo omukozi w’ekibiina ekyo eyali akoleddwako obulumbaganyi ku nguudo ezo.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico