Police erinnyisizza omutemwa gw’ensimbi gwegenda okuwa omuntu yenna anaabawa amawulire agabatuusa ewali Luggya Bbosa Tabula,agambivwa okuluka olukwe lw’okutemula eyali omutaka w’ekika kye Ndiga Lwomwa Eng. Daniel Bbosa.
Omwogezi wa police ya Uganda Fred Enanga agambye nti ku bukadde bwa shs 10 bwebasooka okusaawo, police eyongeddeko obukadde bwa shs obulala 10 nebuwera obukadde bwa shs 20.
Kigambibwa nti Tabula yeyapangisa abasajja abaasasira emmotoka y’ omutaka ebyasi ebyamuttirawo bweyali anaatera okutuuka mu maka ge e Lungujja mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Omutaka Eng.Daniel Bbosa yali atambulira mu mmotoka No.UAK 637X, era ng’ettemu lino lyaliwo nga 25 February,2024.
Luggya Bbosa Tabula ow’emyaka 38 yali mutuuze ku kyalo Kabango mu muluka gwe Kakoola mu district ye Mpigi.#