Police y’ebidduka eriko byezudde ku kabenje k’emmotoka Sino truck eyayingiridde essomero lya Kasaka SS e Kanoni mu Gomba n’etta abayizi, yasoose kuzikira yingini, kyaleetedde Gas agiyambako okusiba okugaana okukola.
Emmottoka nnamba UBL 790J ey’abadde etisse omusenyu ng’eva Mityana ng’edda mu tawuni ye Kanoni, yalemeredde omugoba waayo n’eyingirira Kasaka Secondary School erisangibwa mu town council ye Kanoni mu district ye Gomba, abaana basatu baafiriddewo ate omulala yafiiridde mu ddwaliro ate 18 n’omusomesa omulala nafuna ebisago eby’amaanyi
Abakugu okuva mu kunoonyereza ku bubenje okuva mu police y’ebidduka balambudde essomero lino, okuzuula ekyaviriddeko omugoba wa sino truck okuyingirira ebizimbe by’essomero n’atta abayizi.
Faridah Nampiima omwogezi wa police y’ebidduka mu ggwanga ategeezeza nti alipoota ekoleddwa avunaanyizibwa ku kwekebejja ebidduka IOV, eraze nti emmttoka yagaanye okusiba n’eremerera omugoba waayo.
Emmotoka eno eyabadde etisse omusenyu yayise mu kizimbe ky’essomero ekisooka, abayizi abasoma computer mwebaabadde n’ttirawo basatu, ate omu yamusanze mu kizimbe ekirala mweyasibidde mu kibiina ky’abayizi aba S.4.
Abaddukanya essomero lino erya Kasaka SS basazeewo okuggalawo essomero lino okutuusa wiiki ejja.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico