Police e Wandegeya mu Kampala etandise omuyiggo gw’abazigu abaamenya ekanisa ya Living world assembly nebakuliita n’ebintu ebibalirwamu obukadde bwa shs 20.
Okusinziira ku police, kigambibwa nti mu kiro ekyakeesa ng’ennaku z’omwezi 6 omwezi guno ogwa march, 2023, abazigu abatanaba kutegerekeka bamenya esinzizo erya Living World Assembly Church erisangibwa ku Lumumba Avenue nebakuliita n’ebintu ebiwerako okuli laptops 5, CPU emu, TV, n’ebintu ebirala, nga byonna omugatte biri mu bukadde 20.
Patrick Onyango omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano ategezezza nti abakugu okuva mu police batandise okuyigga abazigu bano nga beyambisa obutambi obwakwatibwa camera eziri ku kkanisa eno.
Obutambi buno bulaga abazigu nga bamenya weema eri ku kanisa, n’oluvannyuma nebamenya enzigi nebesogga munda, era nga police emaze akabanga ng’ekyabeekennenya, kati etandise okubayigga.
Bino webigidde nga police era eri ku muyiggo gw’abazigu abamenye eklezia y’essomero ly’e Enswanjere, nebamenyamenya ebintu n’ebirala nebakuuliita nabyo.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico