Police ye Nansana mu Wakiso eri ku muyiggo gwa maama agambibwa okuwamba n’okubuzaawo omwana we gweyezaalira, n’akanda bba omudidi gw’ensimbi asasule amabanja agamuli obukiika.
Kigambibwa nti nnyina w’omwana nga ye Namuleme Justine aliko omuntu gweyekobaana naye nebabuzaawo omwana Washibeko Adrian okuva ewaka.
Kitaawe w’omwana nga ye Wasenga Steven yaddukira ku police okuloopa omusango ng’omwana abuze ng’ennaku z’omwezi 03 September,2023.
Wayita essaawa ntono n’agwa ku kapapula akaali kawandiikiddwako ennamba y’essimu nga kalagira abazadde okusaako ensimbi, balyoke bafune omwana wabwe.
Kigambibwa nti police yatandikirawo okunoonyereza era neegenda mu maka gabwe, wabula abasirikale olwatuuka ewaka nebeyanjulira omukyala n’ekyali kibaleese, omukyala yabaleka mu ddiiro n’afulumira mu mulyango gw’emmanju naabulawo tebaddamu kumulabako.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire agamba baatandikirawo okunnoonya omukyala ono nga bateebereza nti yalina ky’amanyi ku by’okubula kw’omwana.
Owesigire ategezezza nti enkeera omwana yakomawo ewaka, era n’abategeeza nti nnyina yennyini yeyamussa ku bodaboda n’ajiragirira emutwale ewaka.
Wasenga Steven agamba nti okuva mukyala we lweyabula okuva awaka, abantu abenjawulo betala ewakaawe, nga bagamba nti bawozi ba nsimbi era babanja mukyalawe sente zazze abewolako.
Owesigire agamba nti police emuyigga akwatibwe asimbibwe mu mbuga z’amateeeka.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico