Police eragidde abadduumizi b’ebitundu abatwala eby’obugagga ebyomuttaka okuggalawo ebirombe bya zabbu byonna ebitalina bikozesebwa mu kutaasa obulamu bw’abantu ababikolamu.
Police egamba nti ebirombe ebisinga tebirina bikozesebwa kutaasa bakozi singa babeera baziyiridde wansi mu binnya.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga awadde eky’okulabirako ekya district ye Kasanda ku kyalo Lugigi B, ewali ekirombe kya zzaabu ekigambibwa nti nnyini kyo ye Kityo gwebafunyeko erinnya limu, nti kyatuze abantu 2 , oluvanyuma lwokuziyirira wansi binnya gyebabadde basima zzaabu.
Afande Enanga nti nemu kitundu kye Namukekenga mu district ye Namutumba omuvubuka Brain myaka 18 yafiridde mu kirombe ate Michelle Micheal gweyabadde naye nasimattuka ng’akoseddwa nnyo, era nga kati ali Naggalaama gyajanjabirwa, nga waliwo n’omuwala Namawejje Easter naye eyafiiridde mu kirombe Kya zaabu mweyabadde.
Commissioner wa police Enanga asabye abasirikale babwe okuggala ebirombe byonna ebitali mu mbeera nnungi, okutaasa obulamu bw’abantu.#