Police ye ggwanga erabudde ku bubbi bw’emmotoka n’ebidduka ebirala obweyongedde mu bitundu bye ggwanga eby’enjawulo.
Omuze guno guli buli wamu mu byalo ne mu bibuga.
Ku kyalo Busaabala mu Makindye Ssabagabo municipality balaajana olwóbubbi bw’emmotoka ne pikipiki obusukkiridde mu kitundu kino, nga mukaseera kano emmotoka ezisoba mu 7 zezakabbibwa mu bbanga lya myezi 2.
Wabaddewo ddukadduka abatuuze bwe babadde bagobagana nábabbi abaalumbye amaka gómutuuze Mukasa Kayongo mu matumbi budde, okubba emmotoka ye ekika kya Isuzu Elf kyokka abatuuze nebabagwa mu buufu nebatandika okubagoba okutuusa lwebaabasuuzizza emmotoka neyabadde agivuga n’akwatibwa.
Wabula omukwate mukwewozaako agamba nti banne bebaamututte ku kyalo kino nebamulimba nti balina emmotoka gyebaaguze, nti era yajja okugisobola okugivuga okugituusa e Kampala.
Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti buli lunaku bafuna emisango gy’okubba mmotoka, era nategeeza nti Police yakutandika ebikwekweto okuzuula obubinja buno nga yeyambisa omu ku bantu eyakwatiddwa.
Ababba mmotoka zino bazisanga buli wantu emisana n’ekiro.
Ezimu zibbibwa nga zisimbiddwa ku makubo, mu parking, ewaka, ku mikolo naddala egy’okuziika n’ewalala.#
Bisakiddwa: Ssebuliba William