Police etegeezezza nti okutwalira awamu embeera etambudde bulungi, mu kiseera nga Uganda etuuzizza olukungaana lw’omukago gw’mawanga ga Nampawengwa olwa Non Alligned Movement (NAM).
Olukungaana luno lubumbujjira ku Speke Resort e Munyonyo mu Kampala.
Omukago guno gulimu amawanga 120.
Amyuka Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano Luke Oweyesigire asabye bannaUganda okwongera okukuuma emirembe ng’olukungaana luno lugenda mu maaso, lukomekkerezebwa ku Saturday nga 20 January,2024.
Oweyesigire agambye nti wabula police egudde mu lukwe lwa bannabyabufuzi naddala abali ku ludda oluvuganya government abagala okuteekawo obujagalalo mu kibuga, n’abalabula nti bekomeko nti kubanga police yakubangaanga.
Bino webiggidde ng’abakulembeze b’ebibiina ebimu ebiri ku ludda oluvuganya government okuli NUP, FDC ekiwayi kyoku Katonga Road, ekiwayi kya DP, ANT n’ebirala baayisizza ekiteeso eky’okukolera awamu ku nsonga ez’enjawulo ezinyiga bannauganda
Mu kiseera kino olutuula lwa minister abavunaanyizibwa ku mawanga amalala nga lukubirizibwa minister wa Uganda Gen.Jeje Odongo lwerugenda mu maaso, nga lugguddwawo Vice president wa Uganda Rtd.Major Jesca Alupo.#
NAM (Non Alligned Movement )kye ki?
Uganda yetuuziza olukiiko lwa Non Aligned Movement(NAM) olw’omulundi ogwe 19, ng’olumu ku nkungaana ez’amaanyi mu nsi yonna era nga government egamba nti Uganda yakufunamu nnyo.
Omukago gwa NAM gulimu amawanga agawerera ddala 120, era nga gano galimu abantu ebiweza ebitundu 55% ebya bantu bonna abali ku nsi kuno.
NAM mukago ogwatandikibwawo mu 1961 okutaba amawanga agaalina endowooza nti ensi yali yeyawuddemu ebiwayi bibiri, ngekimu kyali kiwagira Amerika ne banywanyi baayo ba Nasiwa mu kange awamu nabo abaali bekubidde ku ludda olwali lukulemberwa Russia olwalina enkola eya ba Nakalyakaani
Embeera eno yeyasinga okuleetera amawanga agamu agaali tegaagala kulaga ludda, okwegattira mu mukago gwa NAM.
Olutalo wakati wa North Korea ne Soouth Korea nalwo lwaviirako amawanga okwongera okweyawulamu, nga North Korea ewagirwa oludda lwa ba Nakalyakaani ate nga South Korea ewagirwa mawanga aga Nasiwamukange.
Amawanga agakulemberamu NAM okussibwa mu nkola mwemwali India eyali ekulemberwa Jawaharl Nehru, Egypt eyali ekulemberwa Gamal Abdel Nasser, Ghana eyali ekulemberwa Kwame Nkrumah, Yugoslavia olukiiko olwasooka gyelwatuula nga yali ekulemberwa Field Marshal Josip Broz Tito ne Indonesai eyali ekulemberwa Sukarno.
Wabula emyaka bwegigenze giyita, amawanga mangi nga mwemuli ne Uganda, gagenze gegatta ku mukago guno, n’okusingira ddala agavumirira enkola za America ne Russia.
Eggwanga nga Cuba waliwo lweryalemererwa okuvumirira Russia olw’ okulumba Afghanistan, nga kino kyaletera ba memba ba NAM abalala okusazaamu Cuba okukyaza olukiiko olwatuula mu 1979.
Wabula ensangi zino NAM ezze eyisa ebiteeso ebivumirira enkola za Amerika ne banywanyi baayo, nga mwemuli ekya NAM okwagala enkyuukakyuka zikolebwe mu bitongole nga ekya Banka ye Nsi yonna(World Bank) awamu n’ekivunaanyizibwa mu kulondoola ebyenfuna bye nsi (International Monetary Fund), wabula ku nsonga ng’ezivumirira obutujju awo bonna bogera olulimi lwe lwemu.
Omukago gwa NAM gwasaawo obukiiko obwenjawulo obwetongodde obulondoola ensonga ez’enkizo mu nsi, ng’e nsonga eza Palestine, Somalia, enoongosereza mu kibiina kya mawanga amagatte ne nsonga endala nyingi ezigulumbya ensi.#