Police mu Kampala n’emiriraano eriko omwana gwenunudde agambibwa okuwambibwa okuva ku kyalo Kanyogoga Bukasa mu division ye Makindye mu Kampala.
Omwana anunuddwa ye Engole Mark myaka 4 egy’obukulu.
Kigambibwa nti ono yawambibwa omukyala ategerekese nga ye Kihembo Sharon ngénnaku zómwezi 4 July,2023
Kitegerekese nti Kihembo Sharon yawamba Mark oluvanyuma lw’okuwola maama Mark ssente emitwalo 200,000 ezaamulema okusasula.
Sharon police emukwatidde mu katale e Nakasero,nemuwaliriza okubatwala gy’abadde akwese omwana,era okusinziira ku police omwana emusanze ali mu mbeera nnungi.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire avumiridde ekikolwa ekyakoleddwa Kihembo Sharon, kyokka nasaba abantu okubeera abegendereza nga bewola sente.