Police mu district ye Mityana ennyuludde emirambo gy’abakozi 3 abaafiiridde mu kinnya ky’ekyuuma ky’emmwanyi ekya Zzigoti coffee factory.
Abafudde ye Sseguya Collins 21, Kimbugwe James, ne Mwiyigala Bashir 25.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Ssavana Racheal Kawala agambye nti alipoota gyebakafuna eraga nti ekyuuma ky’emmwanyi kyasoose kusirika omulundi gumu, olwo Mwiyigala Bashir n’akka wansi mu kinnya okulaba ekibaddewo teyakomyewo, banne nabo kwekukkayo bataase munnabwe bonna tebaasobodde kudda waggulu.
Racheal Kawala agambye nti emirambo gigyiddwayo negitwalibwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mityana okwongera okugyekebejja.
Agambye nti kiteeberezebwa okuba nga baabuliddwa Oxygyen wansi mu kinnya nebafiirayo.#