Omukwate ye Lukwago David myaka 56 mutuuze ku kyalo Butabire mu gombolola ye Namabu mu division ye Nyenga mu district ye Buikwe.
Kigambibwa nti Lukwago n’omwana we Kyola Morgan babadde babaeera bokka ewaka, wabula buli taata lwabadde ava ewaka ng’omwanam amulekawo yekka.
Wabula ku mulundi guno yasanze omwana avuddewo awaka, yamusanze avuddewo ewaka ng’agenze kuzannya ne bato banne ,naamunonayo namuziingaziinga mu katimba k’ensiri n’atandika okumutulugunya, n’amusiba ku muti.
Omwogezi wa Police Rusoke Kituuma abadde mu lukungaana lwa bannamawulire e Naggulu n’ategeeza nti okunoonyereza kwebaakakola kulaga nti Lukwago yali yafunayo omukyala omulala ku kyalo kye Mbikko gy’abadde atera okugenda, olwo omwana n’amuleka yekka mu nnyumba ng’oluusi tamulekedde wadde eky’okulya.
Rusoke asabye abazadde okuwa abaana eddembe lyabwe ery’okuzannya n’okwogera nabo mu mbeera esaanye, sso ssi kubatulugunya.#