Police mu district ye Nakaseke ekutte Rashid Katongole ng’emutebereza okutta mukyalawe Monica Kunihira abadde atemera mugyobukulu 35.
Kigambibwa nti Katongole okutta Kunihira amaze ku musanga mu nnimiro yabwe n’omusiguze.
Katongole ayambalidde omusiguze nebatandika okulwana,wabula omusiguze n’amusinga amaanyi kwekusalawo obusungu okubumalira ku mukazi n’amukuba ensamba ggere, ezimulese ng’ataawa.
Ismael Kiwanuka ssentebe w’ekyalo agambye nti bagenze okutuuka ku mukyala ng’asigaddeko kikuba mukono, nebamuddusa mu ddwaliro afiiridde mu kkubo.
Omwogezi wa police mu kitundu kya Savanah Rashid Twinamazima agambye nti Katongole abatuuze bamukutte nebamutwala ku police ye Nakaseke gy’akuumibwa, nga n’omuyiggo gw’omusiguze bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Taaka Conslata.