Police mu Kampala n’emiriraano ekutte eyali omujaasi wa UPDF agambibwa okuba nti asaangiddwa ng’atambuza Dollar za America ez’ebicupuli.
Dollar zebamusanze nazo zibadde emitwalo 40,000 bwebukadde bwa shs za Uganda nga 150, nga kigambibwa nti abadde azikukusiza mu kibookisi.
Omukwate ye Nkurunugi Kenneth myaka 36 egyobukulu mutuuze we Rukungiri mugombola Buyanja mu town council ye Buyanja.
Omujaasi ono akwatiddwa police oluvannyuma lw’okufuna amawulire okuva mu park ya Namayiba Bus Terminal mu Kampala nga bwewaliwo omusajja atambula ne kibookisi ekirabika okubaamu ebintu ebitali bituufu, era police ye Namayuba ne Old Kampala kwekusitukiramu ne bamukwata.
Police egamba nti okunoonyereza kwekoze kulaze nti Nkurunugi yaliko mugye lya UPDF ng’akolera ku kitebe ky’amagye e Bombo wabula naawummula mu mwaka 2008.
Mu kiseera kino Nkurunugi yadda kugwakutendeka basirikale e Juba mu South Sudan.
Police egamba nti omusirikale ono abadde yasaba oluwummula (leave) nga 19 August,2023 era yali wakudda ku mulimu nga 19 September,2023 kyokka nasaba okwongerayo oluwummula luno(leave)
Kigambibwa nti omujaasi ono ekibookisi mw’abadde apakidde dollah enkyupule akifunidde Katwe okuliraana ekizimbe Kya BMK, era nakitwala okutuuka mu Namayuba Bus Terminal ku bus ya Classic ebadde egende okukituusa e Juba.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire agambye nti bakyanoonyereza okuzuula omujaasi ono gy’aggye dollah ezo, nebaakolagana nabo.#