Police mu district ye Kalungu ekutte n’eggalira omuchina ategerekeseeko erya Chen agambibwa okugaana okusasula omuvubuka akubye zzaala ku kyuma kye, nawangula obukadde bwa shs 16,776,000.
Ssemakula Moses zzaala amukubidde ku kibuga Lukaya ku kyuma kya kampuni ya Nile betting.
Ssemakula agamba nti yasoose kuteekayo shs ze omutwalo 10,000 mulamba, olwo n’awangula emitwalo 36,000.
Yasazeewo n’aggyayo shs emitwalo 30,000 n’azikuba mu nsawo, n’asigazaayo 6000 keyagenze mu maaso n’okuzannyisa akaamuyambye okukuba obugege obwamuwanguzza obukadde 16,776,000/=.
Omuwala akola ku kyuma abadde tazirinaawo, olwo n’akubira mukama we Omuchina Chen azze n’ategeeza Ssemakula, nti zzaala gwazannye tabadde mutuufu kubanga ekyuma kyakyankalanye.
Kino kitabudde abavubuka ababaddewo nebawa Ssemakula Moses amagezi okugenda ku police e Lukaya aggulewo omusango.
Police ye Lukaya egenze nekwata Chen nemwongerayo ku kitebe kya police ya district ye Kalungu, nayo emwongeddeyo ku Regional police ye Masaka.
Ssemakula Moses yeweze okulemera ku kampuni ya Nile betting emusasule, nti kubanga nayo emaze ebbanga ng’ekyuma kyayo kimukuba ensimbi.
Agamba nti yakamala emyaka 2 ng’azannya zzaala ku kyuma ekyo, nga n’olumu kyamukubako shs emitwalo 50,000/= ezekutte.
Mu ngeri yeemu abatuuze e Lukaya bavumiridde ebyuma by’abachina bino byebagamba nti bisaasaanidde ebitundu ebyenjawulo, ng’abavubuka bangi basiiba eyo nga bazannya zzaala mu kifo ky’okugenda okukola.
Bagamba nti biviiriddeko n’abaana abamu okuyigga obubbi n’obutagenda ku ssomero nga bazannya zzaala.
Bisakiddwa: Nsubuga Muzafaru