Police e Njeru mu district ey’eBuikwe ekutte abantu 3 okuli n’owamagye, basangiddwa n’emmundu nga batambula nayo nga bagyikukulidde mu buveera.
Basangiddwa n’engoye z’abamagye zebabadde bakukulidde mu nsawo wamu n’amasasi agawerera ddala 29.
Bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa police ku lutindo lw’eggaali y’omukka olusala omugga Nile, era nga babadde batambulira ku pikipiki namba UFV 952D .
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Ssezzibwa Hellen Butoto agambye nti abakwate kuliko Mulumba Ali myaka 25 ne Mugogo Muhammend myaka 42, bombi batuuze be Busaana mu Division ey’e Nyenga kwosa Otim Ceaser myaka 28 nga ono musirikale akolera mu nkambi ey’abalwanyisa envuba embi mu kitundu eky’eBusaana.
Butoto agamba nti bonna basangiddwa bambadde engoye za bulijjo, ate ng’ebyambalo by’amagye babikukulidde mu nsawo saako emmundu gyebabadde baziingiriddeko obuveera.
Bisakiddwa: Ssebwami Denis