Police ekutte abasirikale b’eggye lya UPDF babiri abagambibwa okwenyigira mu bubbi omuli okunyagulula obuduuka bwa mobile money mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo nga bakozesa basitoola.
Abakwatte ye Kyaligonza Robert ne Ssekyanzi Elia era bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa police ye Kawempe mu bitundu bye Maganjo mu gombola ye Nabweru mu district ye Wakiso.
Police etegezeza nti Kyaligonza Robert asangiddwa ne basitoila ekika Kya Star nga erimu amasasi 8, era akkiriza nti bebanyaguludde mobile money e Maganjo egambibwa okuba eya Muwonge Eddy.
Abasirikale na UPDF bano, kigambibwa nti babadde bakozesa basitkola eyo okubba mobile money, era basangiddwa n’obukadde bwa shs 6 bwebabadde bakanyagulula.
UPDF etutte Kyaligonza mukadduukulu ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Luke Owesigire asabye abantu abalala abalina obujjulizi ku banyaguluzi bano okutuukirira police basobole okuvunaanibwa mu mateeka.#