Police ekutte abantu 5 ababadde besonsese weema ewakuumibwa abantu abagwiriddwa enjega ya Kasasiro e Kiteezi ne Lusanja, babadde berimbika mu bantu ababadde bagenda okuweebwa ku bintu ebiweebwa abaakoseddwa.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, agambye nti abakwate bakyakuumibwa mu kadduukulu kabwe, olw’okwefuula kye batali.
Okuyikuula kasasiro nakwo kukyagenda mu maaso, mwakagyibwayo emirambo 30.
Mu ngeri yeemu, Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago atadde ku nninga Olukiiko olw,ekikugu mu Kampala olwa KCCA, lunnyonyole omulimu omutuufu ogubadde gusaasaanyizibwako ensimbi ezisoba mu buwumbi bwa shs 4, buli mwaka.
Wabula Amyuka Ssenkulu wa KCCA Eng David Luyimbazi mu kwanukula agambye nti ensimbi zino babadde bazikozesa mu butuufu bwazo, era emirimu egikolebwa gimannyiddwa, omuli okutaambuA kasasiro,okusasula abakozi, okusaasaanya kasasiro n’ebirala.